Saturday 15 June 2013

KATIKKIRO J. B. WALUSIMBI HAD ROUGH TIME IN OFFICE

Ying. JB Walusimbi afugidde ku bugubi
 
Kampala | May 22, 2013
Ying. Walusimbing’akutte Ddamula.





YING. JB Walusimbi yawummudde Obwakatikkiro bwa Buganda wiiki ewedde enkasi n’ekwasibwa Charles Peter Mayiga. KALONDOOZI WA BUKEDDE alaze Walusimbi by’akoze n’okusoomoozebwa kw’asanze mu kisanja kye eky’emyaka etaano.
NZE ndi Katikkiro wa bizibu!,” by’ebigambo Katikkiro wa Buganda eyawummudde, Ying. JB Walusimbi bye yantegeeza gye buvuddeko, bwe nnali mmubuuza by’asuubira bye yali akoledde Buganda mu mwaka 2010.

Ekiseera ekyo Amasiro g’e Kasubi gaali gaakookebwa mu March wa 2010, ate nga mu January w’omwaka gwe gumu, Pulezidenti Museveni yali yaakamala okussa omukono ku tteeka eppya ery’ettaka, bannannyini ttaka lye bagamba nti libanyigiriza nnyo. Jjukira nti Kabaka y’omu ku balina ettaka eddene mu Buganda.

Ying. Walusimbi ye Katikkiro asinze okukulemerera mu muyaga ogw’amaanyi olw’embeera y’okusomoozebwa gy’asisinkanye mu bbanga ery’emyaka etaano gy’aweerezza Obuganda.
Yalondebwa mu 2007, n’akwasibwa Ddamula mu January wa 2008 ng’adda mu bigere bya Daniel Mulika.
Ekizimbe Muganzirwazza, Walusimbi ky’alese azimbye.
Mu kiseera ekyo, eyaliko Katikkiro wa Uganda, Polof. Apolo Nsibambi yategeeza nti engeri gye yali akozeeko ne Ying. Walusimbi, yamulinamu essuubi nti waakuweereza Obuganda n’okuyamba mu nkulaakulana kuba musajja mukozi, omukwatampola ate omuteesa.

Nga yaakakwasibwa Ddamula yatandika na kulumba abamu ku bakungu mu Gavumenti ya wakati be yagamba nti bakola kinene okulemesa enkulaakulana n’okutumbula ebyenfuna mu Buganda.
Okuva ku ntandikwa, Ying. Walusimbi abadde akubiriza abantu ba Buganda okukolera awamu n’okukolerera enkulaakulana ya Buganda.
OMUMULI

Eno y’enkola Ying. Walusimbi gye yasooka okutongoza eyali agendereddwaamu okutandikawo emirimu egy’enjawulo okukulaakulanya Obuganda n’okusitula ennyingiza y’amaka okutwaliza awamu.
Mu nteekateeka eno, buli ggombolola yali ya kuba n’omulimi oba omulunzi omugundiivu, abalala kwe bayinza okulabira nabo okweggya mu bwavu. Kyokka enteekateeka eno teyatuukiriza biruubirirwa byayo olw’obutawagirwa bakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.
Enkola eno yali nnungi, naye kyali kyetaagisa okugiyingiza mu pulogulaamu z’ebyobulimi ez’Obwakabaka ereme kwetengerera.
Polof. Nsibambi agamba nti enkola zonna Ying. Walusimbi ze yaleeta nnungi, naye okusika omuguwa okuli e Mmengo kwe kuyinza okuba nga kwamulemesezza okuzituukiriza.
YASAKIRA MMENGO

Ying. Walusimbi agamba nti Gavumenti eya wakati kyalio kigyetaagisa okuwa Buganda waakiri obuwumbi 10 buli mwaka okutumbula ebyobulimi.
Mu nteegateeka eno Gavumenti yawa Mmengo obukadde 350, ng’entandikwa y’okutumbula omutindo kw’ebirimibwa mu Buganda.
Okusooka abakungu abamu e Mmengo ssente tebaazisiima, naye era okusika omuguwa ku zo osanga kye kyamulemesa okuvaamu ebibala ebisinga, kuba zaayisibwa mu kitongole kya BUCADEF ne zitwalibwa mu bitundu mu ngeri y’endokwa z’emmwaanyi, muwogo ne lumonde owembala, wamu n’okuwa abalimi n’abalunzi amagezi.
BUGERERE

Katikkiro Walusimbi agamba nti okusoomooza kwe yasinga okufuna mu kisanja kye kwe kw’okugaana Kabaka okulambula essaza lye ery’e Bugerere mu September wa 2009. Kabaka yali agenda kukulizaayo olunaku lw’abavubuka, kyokka Poliisi yamugaanira ku mugga Ssezibwa.
Okugaana Kabaka okugenda e Bugerere kyavaako okwekalakaasa mu Buganda okwamala wiiki nnamba, okwavaamu abantu abasoba mu 29 okuttibwa, 50 baalumizibwa nnyo n’abalala 40 ne bakwatibwa.

MU kwekalakaasa kwa 2009, abantu 27 baatwalibwa mu kkomera gye baamala emyaka egisoba mu ebiri! Na buli kati 25 bokka be baateebwa, abalala babiri bakyaliyo!
Wadde oluvannyuma Pulezidenti Museveni yasisinkana Kabaka oluvannyuma lw’ebbanga eddene, naye embeera teddanga mu nteeko, sso nga Ying. Walusimbi yali asuubirwa nti gy’ali wa NRM ate mukwano gwa Pulezidenti, osanga Buganda teyandituuse mu nnaku eno.

Amasiro g’e Kasubi baagookya ku mulembe gwa Walusimbi.
AMASIRO G’E KASUBI

Mu March wa 2010, omuntu ow’ettima yateekera omuliro,Amasiro ga Bassekabaka e Kasubi ogwasaanyaawo ennyumba Muzibwazaalampanga. Gano ge Masiro agakuuma Bakabaka bana okuli Muteesa I, Mwanga II, Chwa II ne Muteesa II. Wabula na buli kati lipoota ku muliro guno tefulumizibwanga, Ying. Walusimbi avudde mu ntebe nga tagibanjizza!
Katikkiro wadde yatongoza enteekateeka z’okuzzaawo Amasiro gano ya buwumbi 10, w’aviiridde ku bukulembeze nga bbugwe w’Amasiro y’azimbiddwaako oluvannyuma lw’emyaka esatu.
Obuwumbi bwa ssente busatu kw’ezo ezeetaagisa okuzzaawo Amasiro ze zisondeddwa.
BWANIKA

Mu August wa 2012, omuliro gwasaanyaawo ennyumba Bwanika e Naggalabi, omukolerwa emikolo ku Mulangira agenda okutuuzibwa ku Nnamulondo. Eno avuddeko tezziddwaawo!
Obuganda bwali bukyewuunya ekyavaako omuliro guno, ate omuntu omulala n’ayokya abaserikale ba Kabaka ku Bulange kwennyini. Basatu be baafa, byonna ku kisanja kya Walusimbi.
Mu 2012, Katikkiro JB Walusimbi yakunga buli Muganda okuyimukiramu okuwakanya ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisomesebwa mu masomero ekyaleeta ekiteeso ky’okuwera ennimi ennansi mu masomero ga Siniya ng’agamba nti kigoberwamu kunafuya byabuwangwa. Ekyo nno kyali kirungi.
MUGANZIRWAZZA

Wabula ekimu ku bintu by’asinze okukolera Buganda ky’ekizimbe Muganzirwazza ekisangibwa e Katwe ekisuubirwa okuleeta ssente mu ggwanika lya Buganda.
Ekizimbe kino kyabbulwa mu Namasole wa Ssekabaka Muteesa I. Ekizimbe kino ekyazimbibwa ekitongole kya Buganda Land Board, kyamawalawo obuwumbi 10, kiriko ofiisi, bbanka, amalwaliro, amaduuka, ssaluuni n’ebirala.
SSEMAKOOKIRO

Ying. Walusimbi ajja kujjukirwa olw’okuwa Obuganda essanyu, bwe yalangirira okuzaalibwa kw’Omulangira Richard Ssemakookiro, Abaganda gwe baayaniriza nga bwe baayaniriza Omumbejja Ssangalyambogo era ne bamukubamu n’ennyimba! Omulangira gy’ali mu Lubiri e Kireka.
ETTAKA

Ng’oggyeeko okwokya Amasiro n’okugaana Ssaabasajja okulambula Bugerere, ekigenda okusinga okujjukirwa ku mulembe gwa Ying. Walusimbi be bantu abangi abagobaganyiziddwa ku ttaka!
Kumpi buli wamu mu Buganda, abantu babagoba ku ttaka.
Ettaka ly’Amasiro litundiddwa Bannaalinnya baago ku mulembe gwe ate alemeddwa okuzza ku mulembe ebifo bingi ebyobuwangwa.
Ekizimbe kya Bulange Plaza, Ying. Walusimbi alese takimalirizza.
BUTIKKIRO

June Nalwoga ow’e Bwaise agamba nti, “Ffe twali tumanyi nti Walusimbi muganzi ewa Pulezidenti Museveni nti era Gavumenti ejja kuzimbira Buganda Butikkiro empya oba eve mu yaffe enkadde e Mengo naye byamulema.
Luke Nalumenya ow’omu Lugo yagambye nti Ying. Walusimbi yalemwa okussaawo pulogulaamu ku leediyo n’emikutu emirala, ezikunga Abaganda obuteetundako ttaka n’okumanya enkozesa yaalyo.
Kasasa Muhamood ow’e Kinnawattaka yakubidde nti Ying. Walusimbi alemeddwa okukola kaweefube w’okulaga Abaganda engeri gye bayinza okwekuumira ku ttaka lya Kabaka.
Kyokka Lamla Nalumansi yeewuunya: Kiki ekyalemesezza Ying. Walusimbi okuteesa ne Pulezidenti Museveni okuwa Buganda ssente zaayo obuwumbi 19 z’ebadde epangisaamu ebizimbe bya Buganda ng’ate oli munywanyi we!
Hajji Twaibu Lumala e Bukasa agamba nti yali yeesunze Mmengo ku mulembe gwa Ying. Walusimbi okukulaakulanya Olubiri wamu n’okuyamba gavumenti ya Ssaabasajja okwenyigira mu busuubuzi n’obulimi obuvaamu ensimbi.
“Ono musajja wa bizinensi, lino ly’ekkubo lyokka eryandireese ssente mu ggwanika lya Buganda n’okumalawo ejjoogo lya Museveni, naye lwaki Walusimbi teyaliraba?,” bw’abuuza.
EBIMUFAAKO

Ying. John Baptist Walusimbi bamuzaala Bakka mu Busiro. Yasomera St. Mary’s Kisubi gye yava okuyingira Yunivasite e Nairobi n’asomayo Diguli mu bwayinginiya bw’okuzimba.
Yatandika kkampuni eyiye eya Associated Consulting Engineering (ACE), era nga y’omu ku baakola ku kulongoosa amaka g’Obwapulezidenti e Ntebe mu kweteekerateekera olukung’aana lw’abakulembeze b’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza olwali mu Kampala mu 2007.
Mu 2000, ye yali ssentebe w’ekibiina ekigatta bayinginiya mu Afrika. Musajja mufumbo nga mukyala we ye Edith Walusimbi.
Yatandika okuweereza Buganda mu 1990, wabula mu 1992 kwe kumanyibwa mu lwatu bwe yalondebwa ng’omuwanka wa Buganda mu lukiiko lw’obwassaabataka olwakulemberwanga omugenzi Joseph Musoke.
Ajjukirwa okukozesa ssente ze okusasula abakozi ba Kabaka n’okuddukanya emirimu gya Buganda egitali gimu olw’okuba nti eggwanika lyali liragaya.
Mu 2003 yakulembera akakiiko akazzaawo kkampuni eyafulumyanga olupapula lwa Uganda Eyogera olwayisibwangamu ebya Buganda.
Yalondebwa ku bwakatikkiro mu 2007 n’akwasibwa Ddamula mu 2008. Wabula yali asabye okuweereza okumala ekisanja kimu kyokka wabula olw’obuweereza bwe obulungi Ssaabasajja yamwongera ekisanja mu 2012.

No comments:

Post a Comment